Owa bodaboda alangiridde okukyusa eggwanga lino singa bannansi bamwesiga, okulembera eggwanga mu kulonda okubindabinda okwa 2026.
Francis Mawejje myaka 30 ng’avuga bodaboda ku Siteegi ya Pioneer Mall, mu Kampala, agamba nti embeera embi eri mu ggwanga, y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo, okwesimbawo.
Asuubiza okukola ku nsonga y’obuli bw’enguzi, okutumbula eby’enjigiriza, ebyobulamu mu bbanga ttono ddala n’ensonga endala
Mawejje agamba nti embeera embi mu bodaboda, y’emu ku nsonga lwaki bavuddeyo okukyusa embeera yabwe.
Agamba nti mu ggwanga lyonna, aba bodaboda bakola ebitundu 80 ku 100 nga kivudde ku bbula ly’emirimu, nga y’emu ku nsonga lwaki bavuddeyo okukola ku nsonga zaabwe.
Agamba nti musajja muyivu nga yasoma enkolagana y’amawanga okuva ku Cavendish University era 2026, alina essuubi okutegeeza bannansi biki byagenda okukola singa bamukwasa obuyinza.
Uganda esuubirwa okulonda omukulembeze w’eggwanga mu Janwali 2026 – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1125s
U can follow me on X, https://x.com/kyeyunesteve