Poliisi e Nsangi etandiise okunoonyereza ku kivuddeko omusirikale waabwe okwetta.
SSP Ahimbisibwe Julius myaka 45, abadde musirikale ku Nakitokolo e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ebiriwo, biraga nti ku ssaawa nga 8 ez’ekiro, Ziwa Abdul abadde ne mukyala w’omugenzi, bakubidde addumira Poliisi y’e Nsangi nti SSP Ahimbisibwe Julius yesse.
Amawulire galaga nti SSP Ahimbisibwe Julius yettidde mu kinnya kyakazambi eky’ennyumba ye.


Poliisi esobodde okusindika abantu baayo okwekeneenya embeera yonna n’okutandiika okunoonyereza okuzuula ekivuddeko embeera y’okwetta.

D/SP Dusabe Innocent, agamba nti mu kiseera kino, okunoonyereza kutandikiddewo. https://www.youtube.com/watch?v=Yitur698KEo

Linda ebisingawo