Poliisi e Kabale etandiise okunoonyereza ku kyavuddeko omwana wa S6 ku Solberg College okwetta.
Omuwala eyesse Kiconco Nikita myaka 21, abadde mutuuze ku kyalo Rutoma Cell mu ggoombolola y’e Nyabikoni.
Omulambo gwa Kiconco gwasangiddwa nga gulengejja ku kisulo olunnaku olw’eggulo ku Sande ku ssaawa nga 7 ez’emisana.
Okusinzira kw’akulira abasomesa Denis Tusiime, bangi ku baana basindikiddwa okudda awaka okulya Pasika era Kiconco yabadde asigadde ku ssomero n’abaana abali mu 60.

Olunnaku olw’eggulo ku makya, abaana bakedde mu kusaba ku Nyabikoni Church of Uganda era Kiconco yasigadde mu kisulo nga yeebase mbu tali mu mbeera nungi.
Abaana okudda kusomero kwekusanga omulambo gwa Kiconco era amangu ddala kwekutemya ku basomesa era ne Poliisi yayitiddwa.
ASP Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti Poliisi eguddewo omusango gw’okwetta era okunoonyereza kutandiise.
Omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale okwekebejjebwa – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1147