– Paapa yenna bw’aba afudde alina okwambazibwa ekyambalo ky’obwa paapa ekijjuvu, era tewali muntu yenna akkirizibwa kukwata mulambo gwe kifaananyi kyonna, nga tegwambaziddwa kyambalo.
– Alina okuziikibwa wakati w’ennaku 4 ku 6 okuva ku lunaku lwafiiriddeko.
– Paapa agalamizibwa mu kifo ekimanyiddwa nga Clementine chapel ekiri mu klezia ya St Peter’s Basilica. Kino kikolebwa okuwa abantu okumukubako eriiso evvanyuma.
– Paapa aziikibwa mu ssanduuko ssatu
1 – Cypress coffin
2 – Lead (zinc) coffin ne
3 – Elm (oak) coffin
A – Cypress coffin yesooka munda, era eno yeraga akabonero nti paapa muntu era nti naye muntu wa bulijjo ng’abantu abalala alina okufa.
– Ssanduuko eno essibwamu obusawo obussibwamu ebinusu ebikoleddwa mu zzaabu, silver ne copper.
– Buli nsawo ebeeramu omuwendo gw’ebinusu ebyenkanankana n’emyaka gy’obukulu paapa gy’abadde nagyo.
Cypress coffin bagisiba bulungi n’obuwero 3 obwa silk, olwo n’eryoka essibwa mu ssanduuko eyokubiri (2) eyitibwa Lead coffin.
2 – Lead coffin kwekussibwa omusaalaba, erinnya lya paapa n’emyaka gy’abeera amaze ku bwa paapa.
3 – Ssanduuko esemba ku ngulu eyitibwa Elm (oak) coffin.
Elm (oak) coffin yeraga ekitiibwa ky’obwa paapa. Era eno okugiggala ekubibwamu emisumaali egyakolebwa mu zzaabu.
– Paapa yenna alina obuyinza okusalawo n’okulaama ekifo gy’agenda okuziikibwa.
– Wabula ba paapa abasinga obungi baziikibwa mu St Peter’s Basilica, awaaziikibwa omutukuvu Petero ne Benedict
– Okusaba n’okukuma olumbe lwa Paapa yenna nga kuwedde, waliwo ekide ekikubwa n’ekivuga omulundi gumu, olwo ssanduuko omuteekeddwa Paapa nessibwa mu ntaana, n’ekuteekebwako ejjinja eddene eribeera likoleddwa mu musenyu n’amayinja. – Paapa Francis yadda mu bigere bya Paapa Benedict XVI (16) eyalekulira nga 28 February 2013 era yafa nga 31, December, 2022 ku myaka 95 egy’obukulu – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=2s
You can follow me on X, https://x.com/kyeyunesteve