Poliisi y’e Kira, eyongedde okunoonyereza ku kabinja k’ababbi, akaludde nga batigomya abatuuze ku kyalo Kyaliwajjala e Namugongo n’okusingira ddala obudde bw’ekiro.
Mu kikwekweeto, ekyakoleddwa Kato Umar yattiddwa, nga banne badduse baliira ku nsiko.
Wabula Poliisi mu kwekebejje amakaage, esobodde okuzuula Magaziini omuli amasasi, ekyambalo ky’amaggye, emmundu enjingirire, ebisumuluzo eby’enjawulo ssaako n’ebintu ebirala.
Mu kunoonyereza, omulongo Waswa, agamba nti Kato Umar, abadde alina emmundu, nga mu kiseera kino, Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya emmundu ezuulibwe.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, ayogeddeko naffe era agamba nti Kato Umar yattiddwa bwe yabadde agezaako okudduka.
Onyango agamba nti Kato Umar ne banne baludde nga banoonyezebwa ku misango egy’enjawulo omuli okubbisa eryanyi wabula wadde Kato attiddwa, omuyigo gukyagenda mu maaso – https://www.youtube.com/watch?v=LaM_60UHZ_Y

You can follow me on X, https://x.com/kyeyunesteve