Munnamateeka w’eddembe ly’obuntu Ladislaus Rwakafuuzi addukidde mu kkooti enkulu n’ekiwandiiko ekisaba ebitongole ebikuuma ddembe okwesonyiwa mukwano gw’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, Christine Mbabazi gwe basibidde mu nnyumba.
Mu kiwandiiko, Rwakafuuzi agamba nti omukyala Christine Mbabazi bamusibidde mu nnyumba e Lungujja okuva nga 15, September, 2017.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2018/09/Kaweesi.png)
Mbabazi agamba nti abasirikale abamukuuma, tebamukiriza kukyaza bagenyi mu maka, okutambula okuva awaka wadde okukuba essimu.
Mu kiwandiiko, Rwakafuuzi ayagala kkooti eragire ssenkulu w’ekitongole ekikesi ekya ISO Col. Kaka Bagyenda eyakulemberamu okumusibira mu nnyumba, amukirize okuddamu okweyagala obulungi n’okwabulira ennyumba ye.
![Christine Mbabazi ne Col. Kaka Bagyenda mu katono](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2018/09/kaka.jpg)
Christine Mbabazi ne Col. Kaka Bagyenda mu katono
Kigambibwa Christine Mbabazi alina kyamannyi ku nfa, ya Andrew Felix Kaweesi eyattibwa ng’akubiddwa amasasi nga 17, March, 2017.