Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) kitegeezezza nga bwe waliwo abasomesa ababadde batandise okutunda empapula ez’ebikyupuli nga balimbalimba ab’amasomero n’abayizi nti bye bigezo ebigenda okutuulwa abayizi ba S.4.

Omuwandiisi wa UNEB Dan Nokrach Odong ategeezezza nti omusomesa omu (1) ye yaakakwatibwa nga ali mu mikono gya poliisi nga waliwo n’abalala bataano (5) abaliira ku nsiko abakyanoonyezebwa.

Odong agamba nti buli lupapula lubadde lutundibwa obubaka 2.

Ate akola ku bibuuzo bya siniya mu UNEB, James Turyatemba alabudde amasomero okwegendereza abantu abayinza okubaggya ku mulamwa, n’okusuula abaana babwe.

Okwogera bino, abadde kitebe kya UNEB e Ntinda ng’alangirira mu butongole nga ebigezo bya S.4 bwe bitandika ku bbalaza ya ssaabbiiti ejja nga 15, October, 2018.

Olunnaku olwaleero ku Lwokutaano nga 12, October, 2018, abayizi bagenda kuteekebwateekebwa (briefing) mu ggwanga lyona.

Abayizi 336, 740 bebewandiisa okutuula ebigezo, 169,984 balenzi ate 166,984 bawala.