Omuyimbi Eddy Kenzo afulumiza oluyimba olupya era asobodde okulweyambisa okusomesa abantu ku mbeera ya Ghetto ne gyenvudde we.

Kenzo y’omu ku bayimbi bannayuganda abasobodde okukola ennyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba era ye munnayuganda yekka alina engule ya BET.

Omwaka ogujja ogwa 2019 nga 4th January, Kenzo alina konsati ku Serena Hotel mu Kampala okujjaguza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba era yasuubiza okufulumya vidiyo empya buli sabiti okutuusa ku lunnaku lwa Konsati ye.

Afulumiza vidiyo y’oluyimba “Ghetto” okutegeeza abantu embeera eri mu Ghetto n’emirimu gye bakola okufuna ssente omuli okutunda eby’okunywa omuli amazzi nga bagatambuza mu bifo ebyenjawulo omuli ppaaka.

Kenzo bwanaava ku Serena Hotel, nga 5, January, agenda ku Renah e Kawanda ate 6th January ali ku Freedom City.