Nnamwandu w’omugenzi Charles Muhangi, Patience Muhangi alabudde okufaafagana n’abagagga abasuubira okunyaga ebintu by’omugenzi.

Muhangi wafiiridde, abadde ku mbiranye ne bagagga banne okuli Drake Lubega ne Mansoor Young lwa nsonga za ttaka mu Kampala.

Charles Muhangi
Charles Muhangi

Olutalo, lwasajjuka ku ntandikwa y’omwezi oguwedde ogwa November nga 5, Muhangi bwe yawambye ettaka lya Qualicel Bus Terminal okutudde ebizimbe okuli ekya Qualicel (ekya Lubega) ne Nabukeera (ekya Yanga) oluvannyuma lw’okuteeka mu nkola ekiragiro kya kkooti Enkulu ekyamuweebwa mu 2017 nga kimulagira okweddiza ettaka, okutudde ebizimbe ebyo.

Olunnaku olw’eggulo ku Ssande mu kuziika Muhangi, kyalo Bumbire e Bushenyi, Nnamwandu Patience yalabudde okufaafagana n’omuntu yenna anagezaako okwetantala okwagala okunyaga ebintu by’omugenzi.

Mungeri y’emu yasabye Gavumenti okumuyambako okukuuma ebintu by’omugenzi okulemesa abagagga abesomye okubitwala.