Omubaka w’e Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne banne 34 enkya ya leero basuubirwa okweyanjula mu kkooti esokerwako e Gulu ku misango egyabagulwako.
Bobi Wine ne banne okuli omubaka we munisipaali y’e Arua Kassiano Ezati Wadri, Jinja East Paul Mwiru, Gerald Karuhanga ow’e Ntungamo eyali omubaka we Makindye Eat Michael Mabikke, Edward Sebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe n’abalala bagulwako omusango gw’okulya mu nsi olukwe nga basinzira kwebyo ebyali mu bitundu bya Arua, nga 13, August, 2018 ebyavirako emu ku mmotoka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubwa amayinja endabirwamu neyiika mu kiseera nga bakomekereza okuwenja akalulu, Kassiano Ezati Wadri keyawangula ng’omubaka w’ekibuga Arua.
Bobi ne banne balindiriddwa mu maaso g’omulamuzi Isaac Imoran Kintu okutegezebwa oludda oluwaabi webatuuse mu kunoonyereza.