Omuyimbi Bebe Cool atabangudde Golf Course Hotel mu Kampala mu konsati ya muyimbi munne Fille Mutoni mukyala wa MC Kats.

Bebe Cool  ku Siteegi
Bebe Cool ku Siteegi

Bebe yalinye ku siteegi n’oluyimba lwe “Katono” nakyankalanya ekifo kyona olw’essanyu.
Ku siteegi yayimbidde eddakika 7 kyoka zonna abadigize obwedda bali mu ssanyu nga bayimbira wamu ennyimba zonna zeyasobodde okuyimba.
Abantu mu kivvulu kya Fille
Abantu mu kivvulu kya Fille

Yagenze okuva ku siteegi nga byana biwala bikutte obutambala okwesimuula entuuyo.
Okuyimba kwa Bebe kulaga nti mu Uganda y’omu ku bayimbi abasobodde okutunda ekisaawe ky’okuyimba n’okuba eky’okulabirako eri abayimbi abato mu ggwanga lino.