Ssalongo VJ Jingo owa Katandiika Butandiisi akwattiddwa mu kiro ekikesezza olunnaku olwaleero mu bitundu bye Lukaya.

VJ Jingo abadde ategekeddwa okusanyusa abaagalana ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero ku JJ Center mu Town Council y’e Lukaya kyokka yaluddewo okutuuka.

Ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, abadigize bavudde mu mbeera ne bekalakasa omuli n’okwonoona ebintu ebyenjawulo nga bawakanya ekya VJ Jingo obutalabikako.

Wadde VJ Jingo yatuuse kikerezi olw’ensonga ezitabadde ngenderere, abategesi bavudde mu mbeera ne bawanyisiganya ebigambo, ekyawaliriza Poliisi okubiyingiramu.

Mu mbeera eyo, VJ Jingo akwattiddwa era akuumibwa ku poliisi y’e Lukaya.

Akulira poliisi y’e Lukaya, ASP Viane Birungi agambye nti obutawuliziganya bulungi wakati wa VJ Jingo n’abategesi y’emu ku nsonga lwaki embeera ebadde bwetyo.

ASP Birungi agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.