Pulezidenti wa Rwanda Paul Rutagambwa Kagame, alabudde amawanga aganyooma wamu n’okuyiikiriza Rwanda, okugyesonyiwa.
Ono agamba nti ekyabatuusizza okuggala ensalo yabwe ne Uganda ng’ejjoogo lisusse.
Kagame bw’abadde mu ttabamiruka w’eggwanga mu kibuga Kigali, kwekutegeeza nti bangi ku Banyarwanda bali mu makkomera agenjawulo mu Uganda ku misango egitamanyiddwa, abalala bali mu makkomera g’amaggye abalala tebamanyiddwa gye bali, ekintu ekimenya amateeka.
Mungeri y’emu Kagame agambye nti kyewunyisa Uganda okukwata bannansi ba Rwanda ne baggalirwa ebanga eddene nga tebaguddwako musango gwonna wabula kubigambibwa nti bayingira mu Uganda mu ngeri emenya amateeka.
Agamba nti akooye bannansi ba Rwanda okuttibwa n’okukwatibwa nga tebalina musango era y’emu ku nsonga lwaki baayimirizza bannansi okugenda mu Uganda.
Kinnajjukirwa nti okuva sabiti ewedde, ezimu ku nsalo eziyingira Rwanda okuva mu Uganda omuli Katuna ne Chanika zaggalwa era kigambibwa nti obutakaanya wakati wa mawanga abbiri (2) yeyavuddeko embeera eyo.