Amasasi ne ttiya ggaasi binyoose ku yunivaasite y’e Kyambogo enkya ya leero nga kivudde ku bayizi okwekalakaasa nga bawakanya etteeka eppya eryayisiddwa.
Abayizi bagamba nti waliwo etteeka eryayisiddwa nga singa omuyizi yenna alwaawo okumalayo ebisale mu budde obuteekeddwawo, obugwako sabiti eno ku Ssande nga 31, March, 2019 wakufiirwayo omwaka mulamba.

Embeera eyo, eviriddeko abayizi okwekalakaasa era Poliisi n’amaggye biyitiddwa mu bungi okutebenkeza yunivaasite era ttiya ggaasi abakubiddwamu n’amasasi mu banga.
Mungeri y’emu waliwo omuyizi akutuseeko engalo, bw’akutte akakebe ka ttiyagaasi okukaddiza basirikale ne kamwabikira ku mukono.

Mu kiseera kino, abasirikale bateevunya nga munyeera, okutangira omuntu yenna, okuddamu okwekalakaasa ng’abamu ku bayizi embeera ebasukulumyeko ne basalawo okudda awaka.
