Kyaddaki omuyimbi Dr Jose Chameleone awadde ezimu ku nsonga lwaki 2021 amaliridde okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bw’ekibuga Kampala.
Chameleone agamba nti alina buli kimu ekyetagisa okwesimbawo era abantu bamusabye okwesimbawo kuba bamulinamu essuubi ddene nnyo.
Mungeri y’emu asanguddewo obulimba bw’abantu nti ekimuleeta mu byobufuzi anoonya mulimu ng’abantu abalala.
Dr Chameleone agamba nti alina omulimu kuba abadde afuna bulungi nnyo ssente mu kisaawe ky’okuyimba kyokka ate mulungi nnyo mu kuwereza abantu kuba akikoledde emyaka 20 gyakulungudde emyaka egisukka 20.
Mu 2021, Dr Chameleone agenda kuvuganya n’abantu abenjawulo omuli Omulooodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Omubaka wa palamenti owa Kawempe north era nga ye Imam wa palamenti Latiff Sebaggala n’abalala.