Wadde bangi ku bannayuganda bagamba Rema Namakula ne bba Eddy Kenzo tebakyakwatagana, ebigambo byabwe bisatuluddwa wakati mu mukwano.
Ebigambo bibadde byogerwa nti Rema yanoba mu maka gaabwe e Seguku olwa Kenzo okulagajjalira ensonga z’amaka kyokka byonna ebyogerwa, Rema abiwakanyiza.
Rema bw’abadde awayamu naffe agambye nti, “abantu balina eddembe okwogera kuba sirina buyinza wadde obusobozi okubalemesa“.


Mungeri y’emu bw’abuuziddwa ebikwata ku laavu yaabwe ne bba Kenzo kuba bonna bayimbi ate bonna batambula nnyo n’okusingira ddala Kenzo, Rema agambye nti, “Obwesigwa kyekisinga byonna eri abaagalana kuba toyinza kuwondera musajja wabula olina okumwesiga mu mbeera yonna“.

Ebigambo bya Rema, kabonero akalaga yafuna okulungamizibwa okuva ewa Ssenga nti omukyala yenna alina okwesiga bba kuba y’emu ku mpagi z’amaka ezikuuma obufumbo n’okuwangala.