Kyaddaki Little Joe ayingizaawo ekyasi kya vidiyo y’oluyimba “Kili City” ebadde erindiriddwa okuva ku ntandikwa y’omwaka gunno ogwa 2019.
Little Joe akola ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Evening Rush ne banne omuli Prim Asiimwe ne Mary Luswata okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano okuva ku ssaawa 9 – 1 ez’olw’eggulo.
Mu luyimba lwe Kili City, alaga nti ebintu ebingi nnyo ebisangibwa mu kibuga era ku siteegi, Little Joe Mpologoma lye linnya lyakozesa.
Alina ennyimba mpitirivu nnyo era mu luyimba lwe Kili City, agamba nti mu Kampala City, mulimu abantu ab’ebika ebyenjawulo n’emirimu egyenjawulo kyokka buli muntu alinako kyakola okwebezaawo.
https://www.youtube.com/watch?v=F35u_FtgiN4