Omuyimbi Eddy Kenzo avuddemu omwasi ku bigambibwa nti waliwo obutakaanya wakati we n’omukyala Rema Namakula era embu essaawa yonna bayinza okwawukana.

Kenzo ne Rema balina omwana omu omuwala Aamal Musuza era babadde mu obufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa emyaka egisukka 5.

Okuva ku ntandikwa y’omwaka gunno, wabaddewo ebiyitingana nti Rema yanoba dda mu maka ga bba Kenzo e Seguku era mbu abeera Namugongo.

Wabula Kenzo bwabadde awayamu ne Kigatto waffe agambye nti buli muntu yenna waddembe okwogera, tewali muntu yenna ansinga kutegeera Rema n’omwana waffe Aamal, bombi bali bulungi nnyo ate Rema ali bulungi nnyo, “Nobody knows Rema better than me and Aamal. We are very fine. She is very fine. The media talks whatever they want“.