Omuyimbi Eddy Kenzo awadde bannayuganda obukodyo obusobola okubayamba mu mbeera yonna okwekulakulanya.

Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book era agamba nti mu bulamu, omuntu yenna alina okwesonyiwa okulowooza ku bintu ebimumalamu esuubi.

Kenzo agamba nti singa obirowozaako, bikumalamu amaanyi n’okunafuya omwoyo gwo, ekiyinza okulemesa okulakulana.

Agamba nti abantu balina okweyambisa emikisa gyabwe okufuna ebirungi mu bulamu bwabwe okusinga okuwa obudde ebintu ebikumalamu amaanyi n’esuubi, “Keep negativity out of your life at all costs. Don’t focus on the negatives, not just today but every day because it will only eat at your soul, slowly but surely. You’ll become a thankless person, always nitpicking over tiny details. Keep reminding yourself of the blessings“.

Ebigambo bya Kenzo biraga nti asobodde okufuna eby’obugagga kuba yekiririzaamu ate obwongo abuwa ebirowoozo ebirungi.

Mungeri y’emu kiraga nti abantu balina okwesonyiwa ebya ‘Illuminati’ nga banoonya ssente eza mangu wabula okubikwasa Omutonzi n’okujjumbira okukola.