Bya Kyeyune Steven Mirembe
Abakulembeze ku ludda oluvuganya Gavumenti bakubye ebituli mu nkyukakyuka ezakoleddwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, mu bitongole ebikuuma eddembe olunnaku olw’eggulo.
Mukulu Museveni yakoze enkyukakyuka ez’omugundo nagoba, abadde aduumira Poliisi mu ggwanga lino Gen Kale Kayihura n’abadde Minisita w’obutebenkevu Lt Gen Henry Tumukunde era bonna balindiridde okuwaayo ofiisi.
Mu kyukakyuka ezakoleddwa, Gen. Elly Tumwine alondeddwa okudda mu bigere bya Tumukunde nga Minisita w’obutebenkevu mu ggwanga lino ate Okoth Ochola alondeddwa ng’omuduumizi wa Poliisi okudda mu bigere bya Gen Kayihura.
Mungeri y’emu, munnamagye Brig. Muzeei Sabitti alondeddwa okumyuka Okoth Ochola ku ky’okudumira Poliisi mu ggwanga.
Wabula Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, agambye nti wadde ekyukakyuka zikoleddwa tasubira kyamanyi, kigenda kukolebwa mu kitongole kya Poliisi kuba bonna balondebwa omuntu omu Yoweri Kaguta Museveni.
Ate omubaka we Nakaseke South, Paulson Kasana Semakula Luttamaguzi agambye nti, enkyukakyuka zigendereddwamu kukyusa ffeesi y’abantu naye ebikolwa, tebigenda kukyuka wadde.
![Ibrahim Ssemujju Nganda](http://galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2018/03/Ssemujju.jpg)
Ate Nampala w’oludda oluvuganya era omwogezi w’ekibiina kya FDC, Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti wadde Okoth Ochola alondeddwa okuduumira Poliisi, munnamagye Brig. Muzeei Sabitti ayinza okutwala obuyinza bwona okulembera Poliisi.
![](http://galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2018/03/Museveni-1.png)
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2018/06/galaxy_logo.png)