Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza ku ngeri omusomesa gye yafudde, oluvanyuma lw’okugwa mu ntamu y’amata, akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.
Bwiringiro Edison abadde musomesa ku Katojo Mordern Preparatory School era abadde mutuuze ku kyalo Kibumba cell mu ggombolola y’e Murora mu disitulikiti y’e Kisoro.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, omusomesa yagudde mu mata mu katawuni k’e Katojo ku ssaawa nga 5 ez’ekkiro ne bamuddusa mu ddwaaliro lye Kisoro ng’ataawa, gye yafiiridde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande.
Maate agamba nti balina okunoonyereza okuzuula engeri gye yagudde mu mata kuba kiteberezebwa nti waliwo eyamusindise mu ntamu y’amata.