Kyaddaki Omuyimbi Rema Namakula alaze nti ali mu laavu nnyo ne bba Dr. Hamzah Ssebunya era tewali muntu yenna ayinza kulemesa mukwano gwabwe.
Olunnaku olw’eggulo Rema yayanjudde bba Dr. Hamzah mu bazadde ku mukolo ogwabadde e Nabbingo ku lwe Masaka.

Ku mukolo, Rema ne Hamzah bonna baanyumidde omukolo era bangi ku bannansi bakiriza nti abaana boolesezza ssente.