Omuyimbi Rema Namakula alangiridde Konsati ku lunnaku lw’abaagalana (Valentine’s Day) nga 14, February, 2020 mu Kampala.

Rema agamba nti Konsati agitegese ku Hotel Africana mu Nile Hall, okukyamula abawagizi be mu ggwanga era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulangirira, “Ladies and gentlemen…… This Valentine’s day. REMA LIVE IN CONCERT AT HOTEL AFRICANA NILE HALL. I’m more than excited“.

Wabula abategeera ebikwata ku kisaawe ky’okuyimba, bagamba nti Rema asoose Eddy Kenzo okuloopa ensonga ze eri abawagizi kuba asuubirwa okweyambisa Konsati okusindikira Kenzo obubaka ng’abuyisa mu kuyimba.

Mungeri y’emu bagambye nti, Rema agenda kweyambisa olunnaku olwo, olwa baagalana, okusiima bba Dr. Hamzah Ssebunya okumwagala ennyo n’okumwerabiza embeera embi gye yalimu mu bufumbo bwa Kenzo.

Omwaka 2020, Rema ye muyimbi yesoose okufulumya oluyimba olupya ‘Clear‘ omujjudde obubaka bw’omukwano n’okusiima musajja we Dr. Hamzah.