Omusama Don Bahati Lubega okuva mu ggwanga erya South Africa alaze nti y’omu ku basajja abalina ssente wadde akyalemeddwa okumatiza bannayuganda.
Bahati avuddeyo okuwagira ekivvulu ky’okuyimbi Spice Diana ku Freedom City nga 17, Janwali, 2020 era akitaddemu obukadde 10 buyambeko mu nteekateeka.


Maneja wa Bahati, Fredrick Mwakira agambye nti omusama Bahati ayagala nnyo Spice kuba ayimba bulungi era y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okuwagira ekivvulu kye.
Bahati era asuubiza okwongera okuwagira abayimbi kuba musajja ayagala nnyo abantu abalina talenti.


Olukwasizza spice ceeki ya bukadde 10, asiimye nnyo Bahati okumuwagira ssaako n’abantu bonna abamwagaliza ebirungi era akoowodde abantu bonna okweyiwa mu kivvulu nga 17, Janwali, 2020.