Omwana myaka 5 eyabula akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande mu Monisipaali y’e Mbarara azuuliddwa nga mufu.
Clinton Amanya yabuzibwawo okuva awaka ku kyalo Biharwe central cell e Mbarara.
Maama w’omugenzi Doreen Musimenta myaka 29 alumirizza omu ku batuuze Nelson Kafuma okwenyigira mu kuwamba n’okutta omwana we.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi Samson Kasasira, maama Musimenta yafunye essimu okuva eri Kafuma ng’amulagirira ekifo awasuuliddwa omulambo gw’omwana we.
Kasasira agamba nti omulambo gwa Amanya guzuuliddwa nga gusibiddwa engoye mu bulago ku kyalo Karama 1 cell mu Divizoni y’e Nyakayojo mu disitulikiti y’e Mbarara.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika lye ddwaaliro Mbarara okwekebejjebwa nga Poliisi bwenoonyereza okuzuula ekituufu ku ttemu eryo.