Poliisi, etandise okunoonya omusirikale eyasse omwana ali mu gy’obukulu 13 mu disitulikiti y’e Kassanda.
Franco Obbu, akulira Poliisi y’e Bukuya yanoonyezebwa ku by’okutta omwana Patrick Manihiro abadde asomera ku Bukuya Primary School.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omusirikale Franco nga yegattiddwa abasirikale abalala ssaako n’abasawo ab’ebisolo mu kitundu ekyo, babadde ku kikwekweeto okutta embwa zonna mu Tawuni Kanso y’e Bukuya olw’okutigomya abatuuze, akawungeezi k’olunnaku olwokubiri.
Enanga agamba nti omusirikale Franco yalabye embwa okugikuba essasi kyokka teyagikwasizza ne likwata omwana Manihiro mu butanwa ne likwata.
Omusirikale Franco olw’okutya abatuuze okumutusaako obulabe, yasudde emmundu wansi naddukirawo nga n’okutuusa kati aliira ku nsiko.
Enanga agamba nti Omusirikale Franco yasse omwana nga tagenderedde kuba yabadde ali ku kikwekweeto kya kutaasa batuuze kyokka ekikolwa eky’okudduka, yakoze nsobi era y’emu ku nsonga anoonyezebwa.
Mungeri y’emu agambye nti balagidde, abatuuze yenna amulabyeko, okutegeeza ku Poliisi.
Enanga era abikudde ekyama nti Ssaabaduumizi wa Poliisi ayingidde mu nsonga okulaba nti omusirikale waabwe akwatibwa ku misango gy’okutta omuntu.