Bya Nakaayi Rashidah

Bannayuganda bawagidde akakiiko akalwanyisa obusegu okubonereza abayimbi bonna, abegumbulidde okwambala enkunamyo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Akulira akakiiko Dr Annette Kezaabu bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu bitundu bye Kasese, yagambye nti abayimbi basukiridde okwambala mu nyambala eyesitaza omuli okwambala obutimba okulaga ebitundu by’ekyama, ekisanyalaza emitima gy’abaana abato n’okubonoona.

Dr Kezaabu bwe yabadde eyogera, yanokoddeyo omuyimbi Sheebah Kalungi nti y’omu kwabo abasukiridde okusabalaza abasajja olw’engeri gyayambalamu, okumalako abakyala ekitiibwa kyabwe ate abaana abato bangi, abamwegomba abagenda okwonooneka.

Sheebah Kalungi
Sheebah Kalungi

Ku nsonga eyo, bannayuganda abasobodde okuwayamu ne 100.2 Galaxy FM banokoddeyo abamu ku bayimbi, abasinga okwambala enkunamyo kyoka ne basaba abayimbi abbo, okweddako.

Abantu banno bagambye nti mu Uga

nda yonna Sheebah yasinga okwambala obubbi, Cindy Sanyu wakubiri, Desire Luzinda akwata kwakuna ate Catherine Kusasira akwata kyakuna.

Cindy Sanyu
Cindy Sanyu
Desire Luzinda
Desire Luzinda
Catherine Kusasira
Catherine Kusasira

Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki Sheebah ayinza okuwangula engule y’omukyala asinga okusasaanya obusegu mu ggwanga lino.

Barbi Jay
Barbi Jay

Ku mbeera eyo, omuyimbi ate nga muwandiisi wa nnyimba Julius Buyinza amanyikiddwa nga Barbi Jay agambye nti obudde bw’ekiro, abantu balina kwolesa kye balina nga n’abayimbi bamu balina okweyambisa emibiri gyabwe okukyamula abalabi.

 

Spice Diana
Spice Diana

Ate omuyimbi Spice Diana agambye nti mu Uganda buli muntu yenna waddembe okwambala engeri gy’ayagala.

Agamba bonna abayimbi bambala engoye okusinzira mu kifo ky’agenda okuyimbiramu era awadde eky’okulabirako nti omuyimbi yenna alina okwambala obugoye obumpi okugenda okuyimbira mu kirabu kuba n’abantu abagenda mu bifo ebyo bambala mu ngeri bwetyo, era agambye nti teri muyimbi yenna ayinza kwambala nkunamyo ng’agenda okuyimba ku mukolo omuli embaga obwa okwanjula.