Omukugu mu kubudaabuda abantu mu nsonga z’omukwano n’okubangula mu nsonga z’omu kisenge Ssenga Justine Nantume atabukidde Minisita minisita w’eggwanga o’wEkikula ky’abantu n’obuwangwa Peace Regis Mutuuzo okuvaayo mu lwatu okuvumirira ebikolwa ebya bakyala okukyalira ensiko.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Minisita Mutuuzo bwe yabadde ku Media Center mu Kampala, yagambye nti bakoze okunoonyereza nga tewali makulu singa omukyala yenna yenyigira mu kukyalira ensiko nga balina okukirwanyisa.
Yagambye nti waliwo abantu abeyita bassenga abegumbulidde okubba abakyala, nga befuula abagenda okubayamba okukyalira ensiko, ekinabayamba okukyamula abasajja abagenze mu kwegatta, ekintu kye balina okulwanyisa.
Mungeri y’emu agambye nti abantu balina okukomya okuzannyira ku butonde bw’omuntu kuba okukyalira ensiko, bityoboola eddembe ly’abakyala, okumala abakyala ekitiibwa ate nga biwemula.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/02/Nantume-333.jpg)
Wabula Ssenga Nantume awadde ensonga enkulu lwaki buli mukyala alina okukyalira ensiko. Ssenga Nantume agamba nti okukyalira ensiko kiyamba omukyala yenna kukuuma ebugumu mu bukyala.
Mungeri y’emu agambye nti abasajja abalina enjawulo wakati w’omukyala eyakyalira ensiko n’omukyala ataakikola.
Vidiyo ya Ssenga Nantume