Akulira basawo b’ekinnansi mu ggwanga Sofia Namutebi Maama Fiina avuddeyo ku nsonga ya minisita w’ebyobuwangwa mu Gavumenti, Peace Mutuuzo okulangirira okudibya empisa z’okukyalira ensiko.

Minisita Mutuuzo yabadde ku Media Center sabiti ewedde gye yabadde agenze okwogera ku tteeka eryayisibwa okuwera enkola y’okukecula abawala mu mbugo esinga okukolebwa e Sebei ne mu bitundu by’e Karamoja.

Minisita yagambye nti okukyalira ensiko kuleeta obulumi ku bawala be baba bakikolako, okutyoboola eddembe ly’emibiri gyabwe, okuboolebwa ku oyo ataakikola ate nga kifuuliddwa kya busuubuzi eri abo abakola nga bassenga ne bakojja.

Minisita Mutuuzo era yalabudde abasomesa abaana okukyalira ensiko nti baba ng’ababayigiriza eby’akaboozi k’ekikulu nga tebanneetuuka.

Ku nsonga eyo, Maama Fiina agambye nti Minisita Mutuuzo alina okumanya nti omukyala yenna okukyalira ensiko y’emu ku ngeri eyinza okuyitibwamu okufuna ekitiibwa.

Mungeri y’emu agambye nti omukyala yenna okukyalira ensiko, kimuyambako okuvuganya mu nsonga z’omu kisenge ku bakyala abalala.

Maama Fiina bw’abadde ayogerako ne munnamawulire wa Bukedde asuubiza okuyamba Minisita Mutuuzo okukyalira ensiko era agenda kumukyalirako mu sabiti 2 zokka.

Maama Fiina agamba nti singa Mutuuzo akyalira ensiko, anaagenda okudda mu Palamenti ng’emiti gyereeze.

Eddoboozi lya Maama Fiina