Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti talina nteekateeka yakuwasa mukyala yenna mu mwaka gunno ogwa 2020 okudda mu bigere bya Rema Namakula mukyala wa Dr. Hamzah Ssebunya.
Omwaka oguwedde ogwa 2019, Kenzo yategeeza nti alina okufuna omukyala mu 2020 kyokka mu kiseera kino simwetegefu era tewali kabonero kalaga nti ali mu laavu n’omukyala yenna.
Oluvanyuma lwa Rema okugeenda, abawagizi ba Kenzo ne Lydia Jazmine bategeeza nti Kenzo alina okufuna omukyala omuyimbi okudda mu bigere bya Rema.
Amangu ddala abawagizi bategeeza nti Jazmine ye mukyala omutuufu okudda mu bigere bya Rema kuba muwala muto, alabika bulungi, ayimba bulungi, alina abawagizi, abantu bamwagala, yeekumidde ku mutindo era Kenzo yandibadde amuwasa.
Wabula Kenzo bwe yabadde awayamu ne munnamawulire MC Ibrah, yagambye nti, “sinafuna mubeezi naye nga wendi“.
Ebigambo bye, biraga nti mu kiseera kino atunuulidde kusanyusa bawagizi be ng’afulumya ennyimba ez’enjawulo, eby’okunoonya omukyala okuwasa mu 2020 sibyaliko.
Ate abawagizi ba Jazmine banyivu nnyo mu kiseera kino kuba Kenzo alaze nti omuntu waabwe tamuliiko wadde alabika bulungi.