Bya Nalule Aminah

Aba Kampuni ya Safe Boda, abakwasaganya omulimu gwa bodaboda mu Kampala n’emirirwano bategese ennaku 5 okudizza ku bantu nga bajanjaba endwadde ez’ebika eby’enjawulo era batandiise enkya ya leero ku Lwokubiri nga 25, Febwali, 2020.

Okujanjaba kutandikidde mu bitundu bye Kyebando nga basinzira ku kitebe kyabwe, nga bawa obujanjabi abali mulimu gwa bodaboda, bakyala baabwe ssaako n’abatuuze.

Ezimu ku ndwadde ezitunuliddwa kuliko okukebera Kkansa mu bakyala, siriimu, Nalubiri, omusujja, okukomola abasajja ssaako n’okugaba omusaayi nga bataambulidde ku mulamwa, “Obulamu bwo, bwe bugagga bwo’.

Olusisira lw’ebyobulamu, lukulembeddwamu Minisita omubeezi owa Kampala Benna Namugwanya Bugembe era asiimye nnyo aba Safe Boda, okuvaayo okuyamba ku Gavumenti mu kujanjaba abantu.

Minisita Namugwanya era asabye abakulembeze ba Safe Boda okukubiriza abali mu mulimu gwa Bodaboda okwetandikirawo emirimu emirala kuba tewali muntu yenna ayinza kuvuga bodaboda okutuuka mu bukadde bwe.

Agamba nti okwetegekera kigenda kuyamba nnyo, abali mulimu gwa bodaboda okwesimisa abantu bonna mu ggwanga.

Ate Nnannyini kutandikawo Kampuni ya Safe Boda, Ricky Rapa Thomson, agambye nti Safe Boda esobodde okuyamba abantu bangi okufuna emirimu omuli abasoma n’abatasoma.

Ricky era agambye nti ku mulundi gunno, batuunulidde okuwa abantu obujanjabi abasukka mu 15,000 mu bitundu bye Kyebando.

Olusisira lw’ebyobulamu olutandiise enkya ya leero okutuuka ku Lwomukaaga nga 29, Febwali, 2020.