Omuyimbi Kiggundu Bruno amanyikiddwa nga Bruno K alaze nti embeera eyongedde okumunyigiriza mu kiseera kino ekya Kalantini ne Kafyu.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yalangirira Kalantini ne Kafyu mu Uganda okumala ennaku 14 ng’emu ku ngeri y’okwetangira Corona Virus okusasaana.

Okuva omwezi oguwedde ogwa March, 2020, Uganda erina abalwadde ba Corona Virus 48 era waliwo okutya nti obulwadde buyinza okweyongera singa Gavumenti ekiriza abantu okung’ana.

Ng’abantu abalala bali mu Kalantini, omuyimbi Bruno K agamba nti olwa Corona Virus, aludde okunywegera omuwala yenna.
Bruko K asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti, “I dont know when I last kissed some bodys daughter Naye CORONA”.

Mu kiseera kino, Bruno K wadde avuddeyo naye bannayuganda bangi nnyo abali mu mbeera y’emu omuli abawala n’abalenzi abakulungudde ennaku nga tewali kunywegera kuba Gavumenti yayimiriza entambula zonna omuli ez’obwannanyini era bangi wadde bali mu mukwano, tebasobola kutambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala kuba tewali ntambula.

Bruno K okuvaayo, kiraga nti mukwano gwe Faridah amwesambye mu kiseera kino ekya Corona oba akooye eby’okunywegera.