Ekitongole kya Poliisi kirabudde baddereva b’ebitongole bya gavumenti ebyakirizibwa okusigala nga bikola ssaako ne Kampuni, okukomya okufuula emmotoka zino takisi nga batikkamu abantu okubatwala mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Okusinzira ku Mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, baleese enkola empya okubuuza ebibuuzo abantu bonna, be basanga mu mmotoka zino era anakwatibwako wakukolwako.

Enanga agamba nti kikoleddwa okutangira abakozi ba Gavumenti, abakkiriziddwa okusigala nga bakola ate okutambuza abantu, abayinza okuvirako okutambuza obulwadde obwa Corona Virus.

Mungeri y’emu n’omwogezi w’amajje lya UPDF Brig. Richard Karemire aggumiza bannayuganda nga emmere eri mukugabibwa abajaasi bwetalimu butwa, nga bwe biyitingana ku mitimbagano gya yintaneeti nga facebook.
Brig. Karemire ategezezza tewali nsonga yonna lwaki amaggye gawa abantu emmere erimu obutwa era nalabula aboogera eby’obulimba okubikomya.