Omuyimbi Madoxx Ssemanda Sematimba y’omu ku bayimbi abaludde mu kisaawe ky’okuyimba kyoka wadde ennyimba ze nkadde nnyo, abantu bangi nnyo omuli n’abavubuka zibanyumira.
Madoxx alina ennyimba mpitirivu nnyo omuli Namagembe, Leka nkulage, Ngolabe, Fed Up, Abato, Wansonyi n’endala era mu kiro ekikeeseza leero ku Lwomukaaga, ayuugumiza kirabu Amnesia mu Kampala.
Abadigize bavudde mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo omuli n’abazungu okwerabira ku muyimbi Madoxx asinga okuyimba Reggae mu Uganda.
Bbo abazungu basobodde okuyimba oluganda n’okuzina okulaga nti banyumirwa nnyo ennyimba za Madoxx wadde ebimu ku byayimba tebayinza kubitegeera.
Mu Kampala Kirabu Amnesia, ky’ekifo ekisanyukirwamu ekireeta abayimbi ne bannakatemba okukyamula abadigize okuva ku Mmande okutuusa ku Ssande.