Minisitule y’amazzi n’obutonde erangiridde okusengula abantu abasukka mu mitwalo 17 abali mu ntobazi ssaako n’embalama z’ennyanja n’okusingira ddala ku Lake Victoria.

Okusinzira ku muwandiisi ow’enkalakalira mu Minisitule y’obutonde n’amazzi Alfred Okot Okidi, entekateeka y’okusengula abantu ku buwaze, kikolebwa okuteeka mu nkola ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ekyayisibwa nga 21, April, 2020, okusengula abantu bonna abazimba mu ntobazi.

Okusengula abantu, kwakutandikira mu distulikiti y’e Kampala, Jinja, Mukono ne Monicipaali y’e Ntebbe n’okusingira okusengula abali mu lutobazi lwe Namiro, Lugonjo Nakiwogo ssaako ne Munyonyo.

Okidi agamba nti abantu okusenga mu ntobazi, y’emu ku nsonga lwaki n’amazzi geyongedde okubayingirira okuva mu nnyanja era bonna tewali kubattira ku liiso, bagenda kubasengula.

Mu bitundu bye Munyonyo, omugagga abalina amayumba mu ntobazi bangi ddala omuli Hamis Kiggundu, Christopher Sembuya owa Sembuule Steel Mills Ltd, Pasita Robert Kayanja ne Pastor Gary Skinner n’abalala kyokka Pulezidenti Museveni aduumidde enju zonna eziri mu ntobazi, okuvaamu.