Eyaliko Pulezidenti w’eggwanga erya South Africa Jacob Gedleyihlekisa Zuma embeera eyongedde okumwononekera era ayinza okuvundira mu kkomera.

Amaka ga Zuma ku kyalo Nkandla
Amaka ga Zuma ku kyalo Nkandla

Zuma myaka 75 nga 6, April, 2018, lw’agenda mu kkooti okuddamu okwewozaako ku misango gy’okubulankanya ssente n’okwenyigira mu kulya enguzi ku nsimbi biriyooni 5 ez’America ezaali zimuwereddwa eggwanga okufuna eby’okulwanyisa omuli ennyonyi enwanyi, amaato g’okumazzi, emmundu n’ebyokulwanyisa ebirala mu 1990.

Wabula mu 2009, Zuma bamugyako emisango egyo, amangu ddala ng’alangiriddwa ng’omukulembeze w’eggwanga eryo kyoka mu kiseera kino emisango gyona, bagigyayo.

South Africa kati ekulemberwa Cyril Ramaphosa, yazaalibwa November 17, 1952 era mu kiseera kino alina emyaka 65.